Ensngekera y'Ekitegabbugumu (the Greenhouse system)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Genda ku: Ndagiriro, kunoonya

IALI NGO was authorized by terminologist Charles Muwanga to post articles from his scientific translations on Luganda wikipedia for public consumption).

"Ekitegabbugumu lya njuba eky'ensi" (the Greenhouse system)

Omuntu ow’omulembe olina okumanya nti okukontana okuli mu butonde kuli ne mu nampewo etubezaawo era enkulungo (ensi) yaffe eri mu nkyuukakyuka ya mbeera ya budde olw’okuba nga obungi bwa kggaasi ezitega ebbugumu ku nsi lisukkulumye kw'eryo eryetaagibwa.


Ekitegabbugumu y’engeri ebbugumu eriva ku njuba gye litegebwaamu era ne liyingizibwa "ggaasi eza kitegabbugumu" (greenhouse gases) ezisangibwa mu nampewo ebbugumu lino bwe liba likyusiza ekkubo okuddayo mu bwengula. Ssinga tewaaliwo ggaasi zino eza kitegabbugumu, ebbugumu eriva ku njuba lyonna lyandibadde lizzibwaayo mu bwengula, kino ne kireka Ensi nga nyinyogovu nnyo obutasobozesa bulamu kubeerako. Kyokka ate ebbugumu oba okwokya okusigala mu nampewo w’Ensi bwe kuyitirira era kireetawo okwonoona embeera y’obudde ku nsi olw’ebbugumu okuyitirira ennyo . Walina kubeerawo bbugumu lya kigero eryetaagisa ku Nsi.

Ekirabika okuva mu bifaananyi ebiweerezebwa ebibulungulo (satellite) ebisindikibwa mu bwengula awamu n’okunoonyereza kiraga nti omuzila oguli ku nsi guli mu kumerenguka olw’ebbugumu eryeyongera buli olukya; semayanja zeyongera okujjula, n’ensengekera z’embeera z’obudde zigenda zikyuuka.

Amazzi ageetagibwa ebiramu gafuuse ga kkekwa, embuyaga (hurricanes), kikungunta (cyclones), ne kibuyaga (typhoons) bigenda byeyongera mu maanyi n’enzilinagana. Eddungu likyayinza okweyongera okugaziwa olwo ensi kigizibuwalile okulima emmele egimala. Kino kyetaagisa okukyuusa enneeyisa okuziiyiza obungi bwa kabwokisaidi mu nampewo.